Oluyimba 269: OMUYAGA GWALI GUWUUMA Lyrics
OLUYIMBA 340: LABA-OMUSUMBA-OMULUNGI
1
LABA-Omusumba-omulungi
Bw’ayita-endiga ze:
Ennafu azisitula,
Ento azirisa.
2
Azitwala ku mabbali
-Ag’amazzi g’obulamu-;
Era n’awali omuddo
-Omulungi omuto.
3
Bwe zikyama nga zireka
Ekkubo lye-effunda;
-Omusumba oyo-omwesigwa
Azigoberera.
4
Bwe tutyo ffe tutambule,
Tugende n’essanyu;
Ye ng’atukuuma bulijjo
Mu kkubo lye-eddungi.
Leave a Reply