Oluyimba 267: KATONDA-ONSEMBEZE Lyrics
OLUYIMBA 339: KATONDA MUSUMBA WANGE
1
KATONDA Musumba wange
Era ye andiisa;
Nze ndi wuwe naye wange,
Byonna-ebibye byange.
2
Andiisa-omuddo-omulungi,
Nzikuta,mpummula;
N’awali-emigga-emirungi,
Annywea lwa kisa.
3
Bwe nkyama ye ankomyawo
N’amggumya omwoyo;
So si lwa bulungi bwange,
Lwa linnya lye lyokka.
4
Mu kiwonvu eky’okufa
Ndiyita nga sitya;
Oluga lwo n’omuggo gwo
Bye binankuumanga.
5
Okwagala kwo-okulungi
Kunaabanga nange;
N’okutendereza kwange,
Kunaabeerangawo.
Leave a Reply