Oluyimba 264: AYI YESU MUKAMA Lyrics
OLUYIMBA 336: NGA BEESIIMYE-ABAKWAGALA
1
NGA beesiinye-abakwagala
Abakukkiriza;
Mu musaalaba gwo Yesu
Mwe bawummulira.
2
Nga kulungi okuyimba
Nga batendereza;
N’okwegayirira kwabwe
Kuwulirwa Yesu.
3
Baweereddwa emirembe
Bonna-abakwagala
Balifuga wamu nawe
Ggwe Katonda wabwe.
4
Tetwalina ssanyu lyona
Nga tujjudde-ebibi
Ekkubo erituuka-ewuwo,
Nga tetuliraba,
5
Otwoleke okwagala
Naffe tukwagale;
Newankubadde okufa;
Tekulitwawula.
Leave a Reply