Oluyimba 263: MUKAMA-OTUYIGIRIZE Lyrics
OLUYIMBA 335: YESU BYONNA ABIMANYI
1
YESU byonna abimanyi,
Kinsanyusa;
Antwala yekka mu kkubo,
Seetaaga mukulembezi,
Wabula ye,wabula ye.
2
Ebiribaawo sibitya,
Ng’antwala nze;
Yesu yekka-ankulembera
Nange ka mugoberere,
Kinsaanidde,kinsaanidde.
3
Siyinza kwerabirira
Ndi munafu;
Ankutte-omukono gwange
Antambuza mu bulabe,
N’emirembe,n’emirembe.
4
Nnina-ekiddukiro gy’ali,
Kya maanyi nnyo;
Ekitalumbika babi
Ekirimu bye neetaaga,
Ne mpummula,ne mpummula.
5
Kyenvudde musanyukira
Bw’ambeera nze,
Ebitayinzika gye ndi
By’asoboola,by’amala ye,
Gwe njagala,gwe njagala.
Leave a Reply