Hymn 261: ZUUKUKA MWOYO GWANGE Lyrics

Oluyimba 261: ZUUKUKA MWOYO GWANGE Lyrics

 

OLUYIMBA 333: OMUKWANO GWA YESU
1
OMUKWANO gwa Yesu
Tegutegeerekeka;
Omwoyo-Omutukuvu
Y’anjigiriza yekka;
Emirembe gijuza
Bwe gityo-omwoyo gwange,
Era gikulukuta
Bulijjo-okunsanyusa.

2
Byonna-ebitalabika
Kaakano mbirengedde;
Bibikkuliddwa gye ndi
Ku lw’ekisa kya Yesu;
Era-ebinafu by’ensi
Katonda yabironda,
Alyoke-akwase-ensonyi
Eby’amaanyi mangi nnyo.

3
Eby’entiisa sibitya;
Nvumbudde-ekiwummulo;
Sikyayengetana,so
Sikyataagana nate.
Nnina-ennono y’obulamu,
Kwe kukkiriza Yesu,
Era nnyimba n’essanyu
Ye Mulokozi wange.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *