Oluyimba 260: KITAAWE WA BONNA-ERI GGWE Lyrics
OLUYIMBA 332: NNINA-OMUKWANO GWANGE,YE
1
NNINA-omukwano gwange,ye
Yasooka-okwagala nze
N’ampalula mu kisa kye,
Kye kyakkirizisa nze.
Leero ndi muddu we,naye
Abaddu be ba ddembe;
Nze ndi wuwe,naye wange.
-Emirembe n’emirembe.
2
Nnina-omukwano gwange,ye
Yafa-okundokola nze,
Kubanga obulamu bwe
Ye bwe yagabira nze.
Nange sikyalina byange,
Ebyange bibye byonna;
Neewaayo mu mikono gye,
Mukwano gwange ddala.
3
Nnina-omukwano gwange,ye
Yaweebwa-amaanyi gonna;
Ge galintuusa ewuwe;
Sitya balabe bonna.
Eb’eggulu mbirengedde,
Bimyansa nnyo nga-effeza:
Kale nkole,nfube,nnwane!
Ye alintendereza.
4
Nnina-omukwano gwange,ye
Mulungi,ow’ekisa;
Angabira ku maanyi ge,
Annumggamya-era andiisa.
Ebiriwo n’ebiribaawo
Tebirinjawukanya;
Emirembe-,egitaliggwaawo
Yesu,mukwano gwange
Leave a Reply