Oluyimba 259: MU BIRO-EBY’ENNAKU Lyrics
OLUYIMBA 331: NKWESIGA YESU MUKAMA
1
NKWESIGA Yesu Mukama,
Nkwesiga wekka:
Laba,ntodde-obulokozi
Bwa buwa.
2
Nkwesiga okunzigyako
Ebibi byonna:
Nkuvuunamidde,Mukama
-Omuddu wo.
3
Nkwesiga-okunnongoosanga
N’omusaayi gwo;
Emisana nkwesigenga
N’ekiro.
4
Nkwesiga-okunnumggamyanga
Gye mggenda yonna;
Bulijjo naawuliranga
Ggwe wekka.
5
Nkwesiga-okumpanga amaanyi
Nze ndi munafu.
Olina gonna ggwe,mu nsi
N’eggulu.
6
Nkwesiga ggwe,Yesu,nneme
Okuzirika;
Mu byonna n’ennaku zonna
Nkwesiga.
Leave a Reply