Oluyimba 258: KA NKWAGALE KATONDA;SIYINZA Lyrics
OLUYIMBA 330: YESU MUKAMA WANGE
1
YESU Mukama wange.
Mweyamba bulijjo;
Yesu Mukuumi wange,
Yesu gwe neesiga.
Nange ntegeera Yesu
Ye y’alindokola,
Mmanyi tulitugoba
Abamukkiriza.
Yesu Mukama wange
Mweyamba bulijjo;
Yesu Mukuumi wange,
Yesu gwe neesiga
2
Yesu Mukama wange,
Mpummulire mu ggwe;
Sisingibwa Ssetaani,
Bwe nkukaabirira.
Gy’oli tebakyakoowa,
Bonna bawummula,
Beerabidde-okukaaba,
Balina-essanyu lyo.
Yesu Mukama wange
Mweyamba bulijjo;
Yesu Mukuumi wange,
Yesu gwe neesiga
3
Yesu,naakweyambanga,
Ggwe-eyatufiirira;
Naakutunuuliranga,
Okunkulembera.
Kale,Mukama wange,
Ka nkulindirire;
Olikomawo ku nsi,
Olikomawo ku nsi,
Okuntwala-ewuwo.
Yesu Mukama wange
Mweyamba bulijjo;
Yesu Mukuumi wange,
Yesu gwe neesiga
Leave a Reply