Oluyimba 255: MU NSI Y’ABAGENYI Lyrics
OLUYIMBA 328: EDDA NALI MBUUSABUUSA
1
EDDA nali mbuusabuusa,
Mu bigambo bya Yesu;
-Oluusi ssanyu,-oluusi nnaku,
Oluusi kukanakana.
Emirembe gya Yesu
Gye ginsanyusa leero:
Era ye wa maanyi nnyo-
Mwesize ye bwesizi.
2
Yampita okusembera,
N’okuleka okutya;
Bwe namala nze-okwewaayo
Emirembe n’agimpa.
Emirembe gya Yesu
Gye ginsanyusa leero:
Era ye wa maanyi nnyo-
Mwesize ye bwesizi.
3
Leero sikyabuusabuusa
-Okwesiga ye kumala;
Yesu antwala bulungi,
Era-ankuuma mu bubi.
Emirembe gya Yesu
Gye ginsanyusa leero:
Era ye wa maanyi nnyo-
Mwesize ye bwesizi.
4
Bulijjo ankuuma-omwoyo
Mbeerenga wa maanyi nnyo;
Era ne mmutendereza,
Ye Mulokozi nnyini.
Emirembe gya Yesu
Gye ginsanyusa leero:
Era ye wa maanyi nnyo-
Mwesize ye bwesizi.
Leave a Reply