Oluyimba 253: TWAGALANE;-OKWAGALA Lyrics
OLUYIMBA 326: ABANTU BA YESU ABALOKOLE
1
ABANTU ba Yesu abalokole,
Abalaba-ekisa,era-ab’eddembe:
Tuli baddu b’ani? Tuli ba Yesu;
Twali ba Ssetaani,ne tusenguka.
2
Yesu be yalonda,be yanunula,
Baana ba Katonda,ab’emmeeme empya;
Tuli baddu b’ani? Tuli ba Yesu;
Twali ba Ssetaani,ne tusenguka.
3
Tuli ba kika kye,ab’omu nnyumba,
Baana mu kisa kye,talituboola.
Tuli baddu b’ani? Tuli ba Yesu;
Twali ba Ssetaani,ne tusenguka.
4
Kiki-ekyatufuula ffe-abalwanyi be?
Yesu yatugula n’omusaayi gwe.
Tuli baddu b’ani? Tuli ba Yesu;
Twali ba Ssetaani,ne tusenguka.
Leave a Reply