Oluyimba 252: MMWE MWENNA ABANOONYA-OKUTUUKA MU GGULU Lyrics
OLUYIMBA 325: BULIJJO,BULIJJO
1
BULIJJO,bulijjo,
Sooka-omulimu ku nkya;
Nyiikira,beeera muteefu,
Tambula mu bwesigwa,
Saanira n’okolera nnyo
Mpeera yo-ey’obutuukirirvu,
Bulijjo,bulijjo.
2
Bulijjo,bulijjo,
Ddayo-eka wo ekiro
Omubiri gwo longoosa,
Lya emmere ya leero
Era weebake-otulo two,
Nga bwe kikusaanidde ddala;
Bulijjo,bulijjo.
3
Bulijjo,bulijjo;
Jjukira Katonda wo,
Bw’akulembera,bw’akuuma
Amakubo go gonna;
Era jjukira-okusaba
N’okutendereza-erinya lye,
Bulijjo,bulijjo.
Leave a Reply