Oluyimba 251: YIMUKA! OJJE-ERI YESU Lyrics
OLUYIMBA 324: OMUZIRA YENNA
1
OMUZIRA yenna
Ayagala-ennyo
-Okugobereranga
Mukama we ye;
Tewali na kabi
-Akalimuziyiza,
Bw’alayira-okubeera-
-Omutambuze.
2
Abamubuulira
-Eby’okumutiisa,
Balemwa-okumalawo-
Obuzira bwe:
Tewali mulabe
Alimuwangula;
Alituukiriza
Ng’omutambuze.
3
Mukama bw’anaaba
Ng’atukuuma ffe,
Tulifuna-obulamu-
Obutaliggwaawo-:
-Eby’omu nsi biriggwaaawo-!
Siityenga-eby’abantu;
Naabeeranga bulijjo-
Omutambuze
Leave a Reply