Hymn 246: MUJJE MWENNA ABAKOOYE Lyrics

Oluyimba 246: MUJJE MWENNA ABAKOOYE Lyrics

 

OLUYIMBA 32: MULOKOZI WAFFE YATUGAMBA
1
MULOKOZI waffe yatugamba,
Ndikomawo ku nsi,mwetegeke.
Tetumanyi biro w’alijjira;
Naye tusuubiranga tulinda.

2
Era-essubi eryo lye yatuwa
Liritusanyusa-ennaku zonna.
Abaagalwa baffe batuleka;
Naye-essuubi eryo litugumya.

3
Abamuweereza mu nsi muno
Baweereddwa-empeera mu maaso go
Era baweereddwa n’omukisa,
Emirimu gyabye nga giwedde.

4
Ku lunaku luli kw’alijjira
Aliyita bonna abeebaka.
Alibakungaanya-abatukuvu
Babeerere awo bonna-awamu.

5
Bwe tulituukayo mu maaso ge
Tulimuweereza n’essanyu nnyo.
Ewuwe tewali kibi kyonna;
Essanyu jjereere-ennaku zonna

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *