Hymn 245: MUJJE MWENNA,MUJJE GYE NDI Lyrics

Oluyimba 245: MUJJE MWENNA,MUJJE GYE NDI Lyrics

 

OLUYIMBA 319: MU NZIKIZA GGWE-oMUSANA OGWAKA
1
MU nzikiza ggwe-Omusana ogwaka,
Onjakire.
-Obudde bukutte nange ntidde nnyo,
Onjakire.
Nkulembera,siraba gye mggenda,
Naye ggwe omanyi byonna,Ayi Yesu.

2
Edda saakwagala ggwe kunnumggamya,
Nakukyawa.
Nali njagala-okweronderanga
-Ekkubo lyange
Naye leero-onsaasire-olw’ekisa,
Tojjukira byonoono byange-eby’edda.

3
-Ekisa kyo ekintuusizza kaakano
Tekiggwaawo;
Tekiiremenga kunneetooloolanga
-Ennaku zonna;
Era ne mu ggulu bwe mdituukayo
Naayimbanga-okutendereza Yesu.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *