Oluyimba 243: MUJJE MWENNA-ABAKOOYE Lyrics
OLUYIMBA 317: ABATAMBUZE,BAYITA
1
ABATAMBUZE ,bayita
Mu kiro ek’ennaku,
Nga bayimba eby’essuubi
Nga bagenda mu ggulu.
2
Tewali kutya nzikiza
Baakirwa omusana;
Bakwatagana mu ngalo
Ne gubakulembera.
3
Abalonde ba Katonda,
Atuwa-omusana gwe
-Okutubeera mu lugendo,
Twekkaanye-ekkubo lyaffe.
4
Ffe tugenderera kimu
N’okukkiriza kumu;
Katonda fenna atuwa
-Essubi limu eddamu.
5
Tulina-oluyimba lumu
Nga tulwanyisa-ebibi;
Olugendo lwaffe lumu
Omusaale ye Yesu.
6
Okwesiima kwaffe kumu
Bwe tulituuka gy’ali;
Gy’afuga mu kwagala kwe,
Kitaffe fenna omu.
Leave a Reply