Hymn 241: YESU ABAKKIRIZA Lyrics

Oluyimba 241: YESU ABAKKIRIZA Lyrics

 

OLUYIMBA 315: KWATA-OMUKONO GWANGE,NDI MUNAFU
1
KWATA-omukono gwange,ndi munafu;
Sirina maanyi,nafuwadde nnyo.
Naye bw’onkwata,siriiko kye naatya.
Naasobolanga byonna-eby’entiisa.

2
Mulokozi,kwata-omukono gwange,
Onsembeze kumpi n’omwoyo gwo
Enzikiza-ekutte,onjakire nze,
Nneme-okukyamanga mu kkubo lyo

3
Kwata-omukono gwange,ggwe-otegeera,
Enkwe n’obulimba bwa Ssetaani;
Bw’obeeera nange naafuna-emirembe,
Naatambulanga n’essanyu lingi.

4
Kwata-omukono gwange,mu bulwadde,
Nga nzirika nga sissa mukka nnyo;
Onsomose-omugga-ogw’okufa kwange
Ontuuse gy’oli-olwa ssaddaaka yo.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *