Oluyimba 237: LABA NNYIMIRIDDE W’OLI Lyrics
OLUYIMBA 311: OMWOYO GWANGE,WULIRA-AMALOBOOZI
1
-OMWOYO gwange,wulira-amaloboozi,
Ba-malayika be nga basuuta;
Nga batenda-obulungi bwe obungi,
N’obulamu obw’olubeerera.
Mmwe bamalayika abaddu be,
Mutwanirize ffe abatambuze.
2
Kale tugende nga tuwuliriza,
-Ennyimba zaabwe,Yesu ng’atuyita;
Tuyite mu nzikiza y’ensi eno,
Enjiri ye ng’etukulembera.
Mmwe bamalayika abaddu be,
Mutwanirize ffe abatambuze.
3
-Eddoboozi lya Yesu likoowoola nnyo
Nga liva-eri waggulu gy’atudde;
Nga lituuka eri abantu bangi,
-Abanafu n’abazitooweredwa.
Mmwe bamalayika abaddu be,
Mutwanirize ffe abatambuze.
4
Bwe tulituuka mu ggulu gy’abeera,
Ennaku z’omu nsi zirikoma:
Tulibeera mu ssanyu ejjereere.
Nga tutendereza-Omulookozi
Mmwe bamalayika abaddu be,
Mutwanirize ffe abatambuze.
5
Mmwe-ab’omu ggulu,bamalayika be,
Mutuyimbire-ennyimba ez’essanyu;
-Okutuusa olunaku olwo-olukulu
-Obuyinike bwonna lwe buliggwaawo.
Mmwe bamalayika abaddu be,
Mutwanirize ffe abatambuze.
Leave a Reply