Oluyimba 230: SAAYUUNI MU GGULU Lyrics
OLUYIMBA 305: NEEWAAYO MU MIKONO
1
NEEWAAYO mu mikono
Gya Yesu kaakano;
Essanyu lyo linkutte,
Sirema kwewaayo.
2
Omwana wa Katonda,
Yesu anjagala;
Neewaayo gy’oli wekka,
N’ebyange-era byonna.
3
Mukama wange,jjangu
Fuga-omwoyo guno;
Tegukyali ku bwange;
Gugwo wekka leero.
4
Kabaka wange-ontwale
Ne bye nnina byonna;
Onkuume n’ekisa kyo,
Mbeerenga mwesigwa.
Leave a Reply