Oluyimba 227: BULIJJO TUTENDEREZA Lyrics
OLUYIMBA 302: EKISA KYO TEKITEGEEREKEKA
1
EKISA kyo tekitegeerekeka;
Mukama wannge, naye njagala
-Okuyiga bulijjo n’okwongera
Okutegeera mu mwoyo gwange
Bwe kyenkana.
2
Okwagala kwo kukira byonna
Bye tulowooza ffe-abantu, naye
Neegomba nnyo-okubuulira wonna
Ekisa kyo-ekinene bwe kiri
Eri bonna.
3
Ekisa kyo kinnemedde ddala
Okukitendereza-obulungi:
Naye emimwa gyannge gyagala,
Mukama okuyimba ettendo lyo
-Ennaku zonna.
4
Newankubadde nga nnemwa leero
Okutegeera-oba-okubuulira
Oba kukweyanza nga bw’osaana,
Naye nzize gy’oli onjijuze
Okwagala.
5
Sirina akanaakusanyusa
Mukama wange, nze munaku wo;
Edda nali seewangayo gy’oli,
Naye leero mpoza kino kyokka;
onjagala.
6
Mukama onjijuze-okwagala,
Ntwala awali oluzzi olwo
-Olw’obulamu, nneme-okuluvaako
Okunoonya-amazzi gonna-amalala
-Ennaku zonna.
7
Era bwe ndikulaba n’amaaso
Ndiyiga-okukutendereza-ennyo;
Kubanga-okwagala-okwenkanaawo
Nga bwe kuli okw’ekitalo-ennyo,
Kumpalula.
Leave a Reply