Oluyimba 212: BULIJJO TUMUSUUTENGA Lyrics
OLUYIMBA 29: MUSANYUKE ABALOKOLE
1
MUSANYUKE abalonde
Abeesiga Yesu,
-Ettabaaza zammwe zaake,
Obudde buzibye.
Mukama waffe alijja,
Kaakano ali kumpi,
Muyimuke mwekuume
Meleme-okwebaka
2
Mukoleeze-ettabaaza
zaake mu nzikiza,
Mulabe-obulokozi
Bwammwe busembedde.
Mukama bamulengera
Kaakano ali kumpi,
Mugende nga muyimba,
-Okumusisinkana.
3
-Abawala ab’amagezi
Muyimbe nnyo nnyini
Ennyimba-ez’amatendo
-Ez’abamalayika.
Yesu atulindirira
Mulokozi w’abantu:
Balokole ba Yesu,
Musembere mwenna.
4
Tukkiriza ggwe Yesu
Mulokozi waffe,
Yanguwa-okujja,olye
Obwakabaka bwo.
Katonda atubeerenga
-Okubuuliranga wonna,
Balokoke bonna.
Leave a Reply