Oluyimba 209: OBWAKABAKA BWO BUJJE Lyrics
OLUYIMBA 287: EKITIIBWA KYO KINENE
1
EKITIIBWA kyo kinene,
-Omununuzi waffe;
Emimwa gy’abantu bonna
Giyimba-ettendo lyo!
2
Erinnya lya Yesu ddungi
Limalawo-okutya;
Lituleetera-obulamu
N’emirembe mu nda.
3
Amaanyi g’ekibi gonna
Yesu yagamenya;
Ffe abaali abasibe
Twafuuka ba ddembe!
4
Buli akkiriza Yesu
Alirokolebwa;
N’abo abaafiira mu ye
Kaakano balamu!
5
Muwulire mmwe-abanaku
Nammwe bakasiru,
Bwe munaasembera gy’ali
Munaawonyezebwa!
6
Mukama waffe-ow’ekisa
Tukwegayirira,
Otuyigirize fenna
Okukusuutanga.
Leave a Reply