Oluyimba 206: KU LWANGE NE KU LW’ENJIRI Lyrics
OLUYIMBA 284: SIYINZA N’AKATONO
1
SIYINZA n’akatono
Yesu nga toliiwo;
Okulwana-akaseera
Mu maaso g’ekibi;
-Abalabe bange bonna
Bantaayiza bubi;
Omulokozi wange,
Ombeere n’amaanyi.
2
Nze ndi munafu ddala.
-Amaanyi gampweddemu;
So sirina magezi,
Ekkubo limbuze.
Beera-Omusaale wange,
Mu masamganzira,
Bw’onkwata n’omukono
Ndituuka-emirembe.
3
Siyinza n’akatono,
Kutambula nzekka;
Ggwe-oli Mubeezi wange
Mu biro-eby’ennaku:
Ggwe tonjabuliranga,
Nneme-okubungeeta,
Siritya kabi konna,
Mu ntuuko-ez’okufa
Leave a Reply