Hymn 201: GGWE MUKULU WEKKA Lyrics

Oluyimba 201: GGWE MUKULU WEKKA Lyrics

 

OLUYIMBA 28: YESU ALIJJA N’EBIRE
1
YESU alijja n’ebire
Eyafiirira-abanyu;
Abatukuvu be bangi
Wamu naye bayimba,
Aleruuya!
Ajja wansi-okufuga.

2
Bonna baliraba Yesu
Ng’ali mu kitiibwa kye:
N’abo-abaamuyigganya
N’abo-abaamufumita
Balikaaba,
Yesu bw’alirabika.

3
Wansi ne waggulu wonna
N’ebirimu biriggwaawo-:
Abaamulyamu olukwe
Baliwulira Yesu
Bw’alisala,
Gubasinze,muveewo.

4
Abeegendereza bonna
Abamulindirira
Balitwalibwa mu bbanga,
Balisangayo Yesu.
Eyeewayo,
Okuleeta-obulamu.

5 Bonna bonna bakusinza
Yesu, mu kitiibwa kyo;
Jjangu,Mulokozi waffe
Olye-Obwakabaka bwo
Tukusuute;
Jjangu,Mukama waffe.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *