Hymn 20: OLUNAKU LWAFE LUNO Lyrics

Oluyimba 20: OLUNAKU LWAFE LUNO Lyrics

 

OLUYIMBA 116: YESU NAAWE WALI
1
YESU naawe wali
Omuto ngaffe,
So tewali muto
Gw’otoyagadde;
Naffe twakusenga
Ku Bbatirizo,
Otujjukizenga
Endagaano eyo.

2
Mu kiseera ekyo
Baatuyingiza
Munda mu kisibo
Eky’Ekkanisa.
Bwe tuneesiganga
Ebigambo byo,
Onootukwatanga
Mu mikono gyo.

3
Tetukyakulaba
Yesu,n’amaaso,
Naye tukusaba
Otukuume nnyo.
Edda tulituuka
Mu ggulu gy’oli,
Okufa kufuuka
Otulo w’oli
4
Ennyonta n’enjala
Tebiriruma
Ndiga zo z’otwala
Ggwe-olizikuuma.
Okufa ku bwaffe
Wakuwangula,
Amaziga gaffe
N’ogasangula.

5
Ayi Musumba waffe
Obulamu bwo
Wabuwa ku lwaffe
Abagule bo.
Otujjukizenga
Emikisa gyo,
Ka tukwesigenga
Wonna,bulijjo.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *