Hymn 197: GGWE-OLI MUTUKUVU,MUKAMA KATONDA Lyrics

Oluyimba 197: GGWE-OLI MUTUKUVU,MUKAMA KATONDA Lyrics

 

OLUYIMBA 276: AYI KITAFFE-OW’OMU GGULU
1
AYI Kitaffe-ow’omu ggulu
Leero twewaayo gy’oli;
Mu nsi eno-ejjudde-ennaku
Kuuma-obulamu bwaffe
Tewali mubeezi yenna
Wabula ggwe Kitaffe.

2
Ayi Mukama waffe Yesu,
Tusaba-otusonyiwe
Kubanga-obunafu bwaffe
Gggwe-obumanyidde ddala;
Omanyi bwe buli-obungi
Otusnyiwe Yesu.

3
Naawe-Omwoyo-Omutukuvu
Kka leero mu nda zaffe
Tujjuze okwagala kwo
Okw’enkalakkalira,
Tunaabeera n’emirembe,
Ng’otusonyiwa-ebibi.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *