Oluyimba 196: KABAKA W’EGGULU Lyrics
OLUYIMBA 275: WULIRA-OKUSABA KWANGE
1
WULIRA-okusaba kwange,
Okw’omwana wo-omuto nze,
Fuka ebirabo byo,
Fuka ku nze bulijjo:
Ssasira-omunafu bwange
Obw’omwana wo-omuto nze
Saasira-omunafu nze;
Nsaasiranga bulijjo.
2
Sonyiwa-ebyonoono byange
Ng’obinaaza n’omussayi-
-Ogw’Omulokozi Yesu;
Nsonyiwanga bulijjo,
Ne mu maanyi ga Ssetaani;
Lokola omwoyo gwange;
Lokla omwaoyo nga nsaba ggwe,
Ndokolanga bulijjo.
3
Kkiriza omwoyo gwange
Gwe nkuwadde-okugukuuma;
Nsanyuse n’ekisa kyo,
Nsanyusanga bulijjo:
Plw’obwesigwa bwo bwonna,
Ayi Katonda,onnyambenga;
Mbeere gy’oli omwesigwa.
Onnyambenga bulijjo.
Leave a Reply