Hymn 194: YESU EKISA KYO-EKINGI Lyrics

Oluyimba 194: YESU EKISA KYO-EKINGI Lyrics

 

OLUYIMBA 273: MUKAMA WAFFE-OW’EKISA
1
MUKAMA waffe-ow’ekisa,
Tusonyiwe fenna;
-Ebirowoozo-ebitukuvu
N’empisa ezisaanira
-Otujjuzenga fenna.

2
Ku nnyanja,abtume bo
Baakuwuliranga;
Fenna fenna tusituke
Era tukugoberere
Amangu nga bali.

3
Tujjukira ennyanja eyo
N’ensozi ennungi;
Yesu kwe yafukamira
Ng’asba-eri Katonda we
Atwagala fenna.

4
Otereeze-emyoyo gyaffe
Ennaku ziggweewo;
-Emitima nga giteredde
gijjukire-emirembe gyo
Egitasingika.

5
Era okwegomba kwaffe
Kumalibwe mu ggwe;
Eby’omubiri n’eby’ensi
Bisirike,tuwulire,
By’oyogera naffe.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *