Oluyimba 19: MULOKOZI WAFFE GWE TWAGALA Lyrics
OLUYIMBA 115: OMUSUMBA-OMULUNGI
1
OMUSUMBA-omulungi
Kuuma-endiga zo zonna;
Mpaawo-alizisikula
-Okuva mu mikono gyo.
2
Bulijjo twewombeeke
Okukugoberera,
Ng’abo abaatusooka,
Tukuumibwe-okwagala.
3
Bulijjo beera kumpi
Tuyige-eddoboozi lyo;
Tuleme-okukyamanga
Nga tuva mu kkubo lyo.
4
Yonna gy’onootutwala,
Tukugobererenga,
Okutuuka mu ggulu
Tufuge wamu naawe
Leave a Reply