Oluyimba 188: BW’ALIJJA MUKAMA WAFFE Lyrics
OLUYIMBA 268: YESU EYASOOKA
1
YESU eyasooka
Okutwagala;
Saasira-obunafu
Bwaffe-abaddu bo.
2
Yesu ggwe muteefu
Ggwe muwombeefu;
N’obuvumu bungi,
Ffe tujja gy’oli.
3
Naye tuli bayi,
Ffe tuyidde nnyo:
Era-ebibi byaffe
Bituyinze nnyo.
4
Ggwe Ayinza-byonna,
Otuwe-amaanyi
Okuwangulanga
Mu kukemebwa.
5
Tuli bagayaavu;
Ggwe munyiikivu
Tuwe-fenna-amaanyi,
Okunyiikira.
6
Tuli banafu nnyo,
Ggwe-oli wa maanyi;
Otunywerezenga
Mu mazima go.
7
Ggwe mubeezi waffe,
Otuzibire
Eri omulabe
Eri omulabe
Waffe Ssetaani.
8
Tukweyanza Yesu,
Ggwe-atujuna-ennyo:
Otuwe Omwoyo
Omutukuvu.
Leave a Reply