Oluyimba 186: OMUSAAYI-OGW’ENSOLO Lyrics
OLUYIMBA 266: YESU BULIJJO NKWETAAGA
1
YESU bulijjo nkwetaaga,
Tondeka bw’omu;
Beera nange ggwe okumoi,
So tonvaamu.
2
Bwe mba nsanyuka nkugamba
ebinsanyusa;
Era-ombeere okukola,
Ky’oyagala.
3
Bwe mba ndaba-ennaku nnyingi
Ezintengezza;
Ggwe-ozimanyi ggwe Mukama
N’onsaasira
4
Bwe mba nsobya ku ggwe Yesu
Olw’obunafu;
Nsaasira-obunafu bwange
Ompe-amaanyi.
Leave a Reply