Hymn 18: BEERA NANGE,OBUDDE BUZIBYE Lyrics

Oluyimba 18: BEERA NANGE,OBUDDE BUZIBYE Lyrics

 

OLUYIMBA 114: OMULOKOZI YESU
1
OMULOKOZI Yesu
Ggwe atuyita mu nsi eno
Okukugoberera,
Kaakano tuzze gy’oli.

2
Tutandise-olugendo
-Okuyita mu nsi enoo;
Tukwate mu mikono
Tulyoke tuwangule.

3
Tuli banafu ddala
Ggwe-oli w’amaanyi
Kaakano tusuubiza
Okukugoberera.

4
Tetutya kabikonna,
Kubanga wasuubiza
Nti ffe mu mikono gyo
Tuli ba ddembe ddala.

5
Olugendo luwanvu
N’emitego mingi nnyo;
Naye bwe tuba naawe
Tulituuka mu ggulu

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *