Oluyimba 170: MUKAMA WAFFE MULOKOZI! Lyrics
OLUYIMBA 251: YIMUKA! OJJE-ERI YESU
1
YIMUKA-! ojje-eri Yesu
Akuli kumpi nnyo;
Oyatule-ebibi byo
Osenge Mukama
Yimuka ojje! Yimuka ojje! akulindiridde:
Oyatul(e) ebibi byo,oweebwe n’omukisa
Gw’agabira obuwa; aweebw(e) ekitiibwa.
2
Yimuka-!ojje-eri Yesu
Va mu kizikiza:
Leka-okubuusabuusa,
Obudde buyita.
Yimuka ojje! Yimuka ojje! akulindiridde:
Oyatul(e) ebibi byo,oweebwe n’omukisa
Gw’agabira obuwa; aweebw(e) ekitiibwa.
3
Yimuka-! ojje-eri Yesu
Akuli kumpi nnyo;
N’okuyita-akuyise
Anaakusonyiwa.
Yimuka ojje! Yimuka ojje! akulindiridde:
Oyatul(e) ebibi byo,oweebwe n’omukisa
Gw’agabira obuwa; aweebw(e) ekitiibwa.
4
Yimuka-ojje-! eri Yesu
Jjangu,otidde ki?
Yafiirira-aboonoonyi:
Jjangu,omwesige.
Yimuka ojje! Yimuka ojje! akulindiridde:
Oyatul(e) ebibi byo,oweebwe n’omukisa
Gw’agabira obuwa; aweebw(e) ekitiibwa.
Leave a Reply