Oluyimba 159: MU MAASO GA YESU ABALOKOLE Lyrics
OLUYIMBA 241: YESU ABAKKIRIZA
1
YESU abakkiriza,
Bonna-abalina-ebibi:
Bwe bamusemberera,
Abakkiriza-ababi.
Yesu abakkiriza,
Bonn(a) abalin(a) ebibi:
Bwe bamusemberera,
Abakkiriz(a) ababi.
2
Jjangu,nnaakuwummuza:
Kkiriza-ekigambo kye:
Eyasinga-okwonoona.
Mukama toomugobe
Yesu abakkiriza,
Bonn(a) abalin(a) ebibi:
Bwe bamusemberera,
Abakkiriz(a) ababi.
3
Neeraba mu maaso go,
Bwe ndi-omwonoonyi ddala;
Naye bwe njija gy’oli
Sitya,ku lw’erinnya lyo.
Yesu abakkiriza,
Bonn(a) abalin(a) ebibi:
Bwe bamusemberera,
Abakkiriz(a) ababi.
4
Ka nkweyanze,Mukama,
Eyannyaniriza nze.
Nange-eyakujeemera
Gw’onaaza-omusaayi gwo.
Yesu abakkiriza,
Bonn(a) abalin(a) ebibi:
Bwe bamusemberera,
Abakkiriz(a) ababi.
Leave a Reply