Oluyimba 158: MUKAMA WAFFE-OW’OBULAMU! Lyrics
OLUYIMBA 240: WULIRA MU LUYOOGAANO
1
WULIRA mu luyoogaano
Eddoboozi lya Yesu,
Bw’akuyita omunaku
Okumugoberera.
2
Nga basuula obutimba
Mu nnyanja-abatume be,
Yabayita ng’abagamba
Bw’ati:Muyite nange.
3
Bo ne balekawo mangu
Obutimba,ne bajja,
Bwe baawulira-eddoboozi
Erya Yesu ntiMujje.
4
Bw’atyo Yesu bw’atuyita
Okuleka-ebyonoono,
Era n’okutambulanga
Mu makubo g’obulamu-.
5
Mu ssanyu era mu nnaku,
Mu ndwadde ne mu bulamu-;
Tukyawulira-eddoboozi
Ly’Omulokozi waffe.
6
Mwana wange tosuulanga
Bye nkugabira buwa,
Laba bwe nnafiirira ggwe,
Mpa-omutima gwo gwonna
Leave a Reply