Oluyimba 155: YESU,TOTEGEEREKEKA Lyrics
OLUYIMBA 238: JJANGU MUNNANGE OWULIRE-ENJIRI
1
JJANGU munnange owulire-enjiri
Y’okwagala kwa Yesu,
Bwe yaleka ennyumba y’ekitiibwa
N’ebintu byonna eby’essanyu,
Yesu yafa,Yesu yatufiirira.
2
Ffe fenna tulina ebibi,
Katonda atunuulira,
Ebyonoono byaffe abimanyi byonna,
Ye wa kisa yatutumira Yesu.
3
Ababi abaamukyawa Yesu,
Baamuwanika ku muti,
Naye okufa kwe kutuwa eddembe,
Okuva mu musango-omubi.
4
Kale omulenzi,ne mwannyina,
Mukkirize kaakano Yesu;
Tewali bulokozi mu mulala,
Mu nsi zonna oba mu ggulu
Leave a Reply