Oluyimba 154: ESSANYU-ERINGI-ERITAKOMEZEKA Lyrics
OLUYIMBA 237: LABA NNYIMIRIDDE W’OLI
1
LABA nnyimiridde w’oli,
Neeyanjula ku luggi lwo,
-Ebibi tebikukooyesa?
Onnyingize,onnyingize.
Laba nnyimiridde w’oli
Neeyanjula ku luggi lwo,
Ebibi tebikukooyesa?
Onnyingize,onnyingize.
2
Ku lulwo nnakomererwa,
Tojjukira kufa kwange?
Essanyu lyo liddirira;
Oyingire,oyingire.
Laba nnyimiridde w’oli
Neeyanjula ku luggi lwo,
Ebibi tebikukooyesa?
Onnyingize,onnyingize.
3
Tomggaana,laba nkwolesa,
Mu maaso go enkovu zange:
Nneemale omutima ggwo?
Onsembeze,onsembeze.
Laba nnyimiridde w’oli
Neeyanjula ku luggi lwo,
Ebibi tebikukooyesa?
Onnyingize,onnyingize.
4
Nkuleetedde-ebirabo byo
-Emirembe,-essanyu,n’obulamu
Ka nkulokolere ddala,
Ayi mwana wange-,onnyingize
Laba nnyimiridde w’oli
Neeyanjula ku luggi lwo,
Ebibi tebikukooyesa?
Onnyingize,onnyingize.
Leave a Reply