Oluyimba 152: WEEBAZE GGWE EMMEEME YANGE Lyrics
OLUYIMBA 235: WULIRA-EDDOBOOZI
1
WULIRA-eddoboozi
Erijja gy’oli
Genda Yesu gy’ali
Akugamba nti:
2
Mpa omutima gwo,
Nnakufiirira,
Nze,nze nkuyita ggwe,
Sembera gye ndi
3
Bw’onoobanga-onoonya
Ekiddukiro;
Ddukira-eri Yesu,
Omulokozi.
4
Eddoboozi ttono
Naye lya maanyi;
Laba-okwagala kwe,
Ggwe omwonoonyi.
5
Muwe omwoyo gwo
Yakufiirira;
Ye akuyita ggwe,
Genda mangu nnyo.
Leave a Reply