Hymn 150: TUKWEYANZA KITAFFE Lyrics

Oluyimba 150: TUKWEYANZA KITAFFE Lyrics

 

OLUYIMBA 233: MU KIBUGA KYA KATONDA
1
MU kibuga kya Katonda,
Nga guva mu ntebe ye,
Waliwo-omugga-omulungi
Ogw’amazzi ag’obulamu.

Abatukuvu ba Yesu
Bagusanyukirako:
Naffe twagal(a) okutuka
Ku mabbali g’omugga guli.

2
Yesu Omusumba waffe
Anatulumggamyanga,
Mu ddundiro ly’okwesiima
Eririraanye-omugga guli

Abatukuvu ba Yesu
Bagusanyukirako:
Naffe twagal(a) okutuka
Ku mabbali g’omugga guli.

3
Naye nga tetunnatuuka
Awali-omugga guli,
Otutikkule-emigugu
Egy’ennaku era n’ebibi.

Abatukuvu ba Yesu
Bagusanyukirako:
Naffe twagal(a) okutuka
Ku mabbali g’omugga guli.

4
Olugendo lwaffe luno
Lwa nnaku si nnyingi nnyo:
Ffe tetulirwa kutuuka,
Okwetaba n’abantu bali

Abatukuvu ba Yesu
Bagusanyukirako:
Naffe twagal(a) okutuka
Ku mabbali g’omugga guli.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *