Oluyimba 149: OKWOLESEBWA KULUNGI Lyrics
OLUYIMBA 232: OBULAMU BWAFFE BUNO
1
-OBULAMU bwaffe buno
Bujjudde nnyo-ennaku;
Naye obw’ensi eyo
Bwa ssanyu jjereere.
2
N’entalo-eza kaakano
Za ntiisa bulijjo,
-Omulabe waffe-ow’edda
Wa maanyi mangi nnyo.
3
Naye Omubeezi waffe
Asingira ddala;
Era-abamwesiga ye
Be baliwangula.
4
Fenna kyetunaavanga
Tunyiikira nnyini;
Kubanga tumanyi nti:
Ye-alituwummuza.
5
-Ekiseera si kinene
Ekirimu-akabi,
Ne tulyoka tutuuka
Awali Katonda.
6
Obudde bwe bulikya
Enzikiza n’eggwa,
Yesu Musana gwaffe
Aliba-atwakidde
Leave a Reply