Oluyimba 147: MUKAMA OMUYINZA WA BYONNA,OMUTONZI Lyrics
OLUYIMBA 230: SAAYUUNI MU GGULU
1
SAAYUUNI mu ggulu,
Katonda gy’abeera;
Bwe ndifa,ndigenda
N’essanyu lingi nnyo.
Katonda wang(e),eyo gy’oli
Ndituuka dd(i) okukulaba?
2
-Omulokozi gy’ali,
Gwe baayigganyanga;
Ne bamalayika
Bayimba-ettendo lye.
Katonda wang(e),eyo gy’oli
Ndituuka dd(i) okukulaba?
3
Ab’edda baali-eyo,
Baakomekkereza
Emgendo Zaabwe,era
Baalaba Mukama.
Katonda wang(e),eyo gy’oli
Ndituuka dd(i) okukulaba?
4
Eri n’abatume
Gye balabikira;
Bonna-abamwesiga,
Nga bakuba-ennanga
Katonda wang(e),eyo gy’oli
Ndituuka dd(i) okukulaba?
5
Era-abajulirwa
-Abaalangibwa Yesu,
-Era abamwesiga
Eyabalokola.
Katonda wang(e),eyo gy’oli
Ndituuka dd(i) okukulaba?
Leave a Reply