Oluyimba 146: KA TUMUSINZE,KATONDA WAFFE Lyrics
OLUYIMBA 23: KATONDA WANGE NKWEBAZA
1
KATONDA wange nkwebaza
Olw’ebirungi ebya leero;
Era nkusaba onkuume
Mu budde bwonna-obw’ekiro.
2
Onsonyiwe ebyonoono
Bye nsobezza olwa leero:
Ompe-emirembe mu mwoyo,
Nga ngenda-okwebaka otulo.
3
-Onjigirizenga bulijo
Ekkubo lye naakwatanga:
Bwe ntyo bwe ndituusa-okufa
Nneme-okutya-entiisa yonna.
4
Mpummulire mu maaso go
Mu nzikiza nkweyabiza,
Ne ndyoka ngolokoka-enkya
Okukuweereza nate.
Leave a Reply