Oluyimba 143: ENSI ZOONA,WE ZIFA ZENKANA Lyrics
OLUYIMBA 227: BULIJJO TUTENDEREZA
1
BULLIJO tutendereza
Ekibuga kyaffe,
Ekyakubibwa mu ggulu,
Yesu kye yazimba.
Singa mbadde n’ebiwawa
Nga bamalayika,
Nandibuuse,nandituuse
Eri mu Sayuuni
2
Era-ennyumba zaakyo zonna
Ziringa nga zaabu;
Ze zisinga zonna ddala
Ezizimbibwa abantu.
Singa mbadde n’ebiwawa
Nga bamalayika,
Nandibuuse,nandituuse
Eri mu Sayuuni
3
Yesu mwali,ye Mukama,
Abafuga bonna;
Bamalayika beeyanza,
Nga bamuweereza.
Singa mbadde n’ebiwawa
Nga bamalayika,
Nandibuuse,nandituuse
Eri mu Sayuuni
4
Mu ntebe ye mufuluma
-Amazzi g’obulamu
Agamasamasa ddala
Nga-effeeza-ennungi.
Singa mbadde n’ebiwawa
Nga bamalayika,
Nandibuuse,nandituuse
Eri mu Sayuuni
5
Era gy’ali gye gumera
-Omuti gw’Obulamu
Amalagala kwe gali
Agawonya-abantu
Singa mbadde n’ebiwawa
Nga bamalayika,
Nandibuuse,nandituuse
Eri mu Sayuuni
6
Ffe tusiime ekibuga
Yesu Kristo waffe
Kye yatulongoosereza
Ekiri mu ggulu.
Singa mbadde n’ebiwawa
Nga bamalayika,
Nandibuuse,nandituuse
Eri mu Sayuuni
7
Otuzibule amaaso,
Yesu tukulabe;
Tubiwulire-ebigambo
Bya Mukama waffe.
Singa mbadde n’ebiwawa
Nga bamalayika,
Nandibuuse,nandituuse
Eri mu Sayuuni
Leave a Reply