Oluyimba 140: EBINTU-EBIRUNGI N’EBINTU-EBIKULU Lyrics
OLUYIMBA 224: MWENNA MUYIMUKE
1
MWENNA muyimuke,
Ng’abasserikale;
Mwambale-eby’okulwanyisa
Byonna-ebya Katonda.
2
Mubeere ba maanyi,
Mumutunuulire;
Ye ge maanyi gaffe gonna,
Agatuwanguza.
3
Temutya mulabe,
Yesu yawangula;
Amaanyi gonna-ag’okufa
Tegakyasobola.
4
Mugende mu maaso;
Laba ebbendera;
Nga yo ebakulembera
-Omugabe ye Yesu
5
Mwesibe-amazima,
N’obutuukirivu;
Nga mutunuulira Yesu,
Omukulembeze.
Leave a Reply