Oluyimba 139: BAMALAYIKA BAYIMBA Lyrics
OLUYIMBA 223: MMWE MWENNA-ABOOLUGANDA
1
MMWE mwenna-abooluganda
Mubeere n’essanyu;
Ensi zijjule-ettendo
Ery’omulokozi
-Abantu-abatabalika
Bamugulumiza;
Leero bafunye-eddembe
Lwa linnya lye-lyokka.
2
Mmwe mwenna-abooluganda
Mulwane n’amaanyi;
Eyeeraga-amasajja;
Empeera ye nnyingi.
Yesu Mugabe waffe,
Wa maanyi mangi nnyo:
Tufube nnyo bannaffe,
Tuwangule leero.
3
Mulokozi,ffe fenna
Tweyanze nnyo nnyini;
-Okuwangula si kwaffe,
Tumaanyi nga kukwo;
Wawangula Ssetaani,
-Omulabe waffe-oyo;
Naffe tetumutyenga,
Tujaguze leero
Leave a Reply