Hymn 138: AYI KATONDA BWE NDOWOOZA Lyrics

Oluyimba 138: AYI KATONDA BWE NDOWOOZA Lyrics

 

OLUYIMBA 222: MULWANYI WA YESU OLINA-ENNAKU
1
MULWANYI wa Yesu olina-ennaku,
Abalabe bangi bakutaayiza,
Zuukuka-obakube,oliwangula.
Yesu ali naawe,omweyabize.

2
Mulwanyi wa Yesu,laba-emitego,
Ssetaani wa maanyi okukusuula;
Totya,guma-omwoyo,tolwana wekka,
Olina-Omubeezi,-erinnya lye Yesu.

3
Mulwanyi wa Yesu,obawulira,
Ebigambo byabwe bikuwoomera?
Byonna bya bulimba,tobikkiriza;
Obukuusa bwabwe bulirabika.

4
Yesu agamba nti Mbimanyi byonna,
Okooye-,olemeddwa,tokyasuubira,
Teweekanga n’akamu-,ddamu amaanyi,
Mu ggulu entalo zonna ziriggwa.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *