Hymn 137: ABANTU BONNA AB’ENSI Lyrics

Oluyimba 137: ABANTU BONNA AB’ENSI Lyrics

 

OLUYIMBA 221: BALWANYI BA YESU MWESIBE-ENKOLA
1
BALWANYI ba Yesu mwesibe-enkola,
Mulwane masajja,tuliwangula;
Tulina-Omugabe,asinga bonna,
Ye Kabaka Yesu-Omukulembeze.

Balwanyi ba Yesu,mwesib(e) enkoba;
Muwulir(e) enmgoma,Kabak(a) alaya.

2
Bajjajjaffe-ab’edda baalwananga nnyo,
Tulwane bannaffe,naye si nga bo;
Abalabe baffe,bwe bubi bwonna,
N’obulimba bw’ensi; bye tuligoba.

Balwanyi ba Yesu,mwesib(e) enkoba;
Muwulir(e) enmgoma,Kabak(a) alaya.

3
Tetwetaaga mmandwa oba mayembe,
So n’eby’obufumu,tebitugumya;
Yesu ye kennyini,atuwa-amaanyi,
Kale nno tugume nnyo tuwangule.

Balwanyi ba Yesu,mwesib(e) enkoba;
Muwulir(e) enmgoma,Kabak(a) alaya.

4
Ayi Kabaka waffe,tuzze-okuwera,
Twesibye enkoba ng’abalwanyi bo:
Mu lutalo lwonna,lw’otugabyemu,
Genda wamu naffe ggwe,tuwangule.

Balwanyi ba Yesu,mwesib(e) enkoba;
Muwulir(e) enmgoma,Kabak(a) alaya.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *