Oluyimba 136: AYI GGWE KWAGALA,GGWE ASINGA BYONNA Lyrics
OLUYIMBA 220: KALE GGYE LYA YESU, MUGOLOKOKE
1
KALE ggye lya Yesu, mugolokoke,
Mulabe Mukama akulembedde:
Mu balabe bangi Yesu Mugambe;
Mukama-atuyita;tugende naye.
Kale ggye lya Yesu,mugolokoke,
Mulabe Mukama akulembedde.
2
Tugende mu maaso,ng’abalwanyi be,
Tusinge Ssetaani n’amagezi ge.
Tukkirize Yesu ye ngabo yaffe
N’ekitala kyaffe kye kitabo kye.
Kale ggye lya Yesu,mugolokoke,
Mulabe Mukama akulembedde.
3
Erinnya lya Yesu bwe liwulirwa,
-Abantu ba Ssetaani badduka bonna.
Mmwe mugume-emyoyo,abooluganda;
Mu Mukama waffe tuliwangula.
Kale ggye lya Yesu,mugolokoke,
Mulabe Mukama akulembedde.
4
Mubayite bangi bagende naffe,
Balyoke babeere abalwanyi be.
Kale abooluganda,tugume-emyoyo;
Omugabe waffe ye wa maanyi nnyo.
Kale ggye lya Yesu,mugolokoke,
Mulabe Mukama akulembedde.
Leave a Reply