Hymn 134: MUJJE, NGA MWETEREEREKA Lyrics

Oluyimba 134: MUJJE, NGA MWETEREEREKA Lyrics

 

OLUYIMBA 219: YESU AJJA! ABALABE
1
YESU ajja! Abalabe
Tulibagoba;
Yesu Mulokozi waffe,
Alitujuna.

Yesu agambaMmwe mugume

Nze njija mangu:
Tumuddemu Tunaalwana,

Olw’ekisa kyo.

2
Laba,eggye-erya Ssetaani,
Liba lingi nnyo;
Naye Yesu ali wamu,
Naffe bulijjo.

Yesu agambaMmwe mugume

Nze njija mangu:
Tumuddemu Tunaalwana,

Olw’ekisa kyo.

3
Amafamu ga Ssetaani,
Kwe kusoomoza:
Gonna ganaamenyebwanga,
Naye-aligobwa.

Yesu agambaMmwe mugume

Nze njija mangu:
Tumuddemu Tunaalwana,

Olw’ekisa kyo.

4
Ebigambo bya Katonda
Bitugumya nnyo;
Bye biyinza okugoba
Abalabe be.

Yesu agambaMmwe mugume

Nze njija mangu:
Tumuddemu Tunaalwana,

Olw’ekisa kyo.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *