Hymn 133: NYWEZA-,AYI KATONDA,-EMIKONO Lyrics

Oluyimba 133: NYWEZA-,AYI KATONDA,-EMIKONO Lyrics

 

OLUYIMBA 218: YESU,BWE NNAKUSENGA
1
YESU,bwe nnakusenga,
Ne nsuubiza kino,
-Okukugoberenga
Obutaddirira.
Naye Mukama wange,
Beeranga nange ggwe,
Nnemenga okwesittala-,
Oba kukyamanga.

2
-Abalabe bange bangi,
Ba kyejo,ba ttima;
Naye ggwe-osinga bonna
-Okubeera n’amaanyi,
Sijja kuggwaamu mwoyo,
Ggwe ononnyinzisanga
-Olutalo-olw’entiisa.

3
Bwe mba nga neesittala,
Nkwata ku mikono,
-Awatali ggwe siireme
Kukyamira ddala;
Bwe mba nga nafuwadde,
Onzizeemu-omwoyo,
-Obusungu nga bunkutte,
Onkomeko mpola.

4
Naawe,Mukama wange,
Wasuubiza kino,
Ankwesiga-amazima,
-Okumutuusa-ewuwo
Kale, nze nnakusenga,
Ombeere lwa kisa,
Nnemenga-okudda-ennyumba,
Mbeerenga mwesigwa.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *