Oluyimba 131: GGWE-AKAMWA KANGE, TENDANGA Lyrics
OLUYIMBA 216: LWANANGA MU LUTALO LWO
1
LWANANGA mu lutalo lwo,
Okulwana okulungi,
Nyweza ggwe obulamu bwo,
Yesu atuwa empeera.
2
Wakana ggwe-omuwakanyi,
Leeta amaanyi go gonna,
Gumira-olugendo lwo,
Yesu atuwa empeera.
3
Leka-okweraliikirira,
Tulina-Omusaale waffe;
Mwesige ye,oliraba
Yesu bw’atuwa-ebirungi.
4
Tozirika,ali kumpi,
Tajjulula kwagala kwe,
Kkiriza ggwe,oliraba
Yesu bw’ali-Omulokozi
Leave a Reply